Africa By Herman Basudde (Lyrics)

Nsooka kwebaza maama eyanfako bwaati nesifa mu myaka jiri
Omanyi nazalibwa myaaka ejarimu endwadde embi ku ludda lw'abaana
Mu myaaka j'ataano mw'omunaana awo ensi eno lwenjitambaala
Namusuna weyefugira ennyo emibiri j'abaana abaliwo munanjulira
Ne Polio mbiseera ebyo ndwadde yali ya mweera bangi nebafungalala
Nze kwebyo byombiriri teri kyantabaala kwali kufuba kwa maama
Zino embale kkiriza nti bizibu byansi nga nvudde mu buto bwange
Nga ndi musajja nno eyeyawulira nazifuna ninawo n'abaana
Nsabira ne bannange bwetwazirunda nga bwessirabako nti ono
Nandibamenye amannya wabula bangi nyo walumbe atusombye luno
Kakati ate mwe abandabye obukulu mwebale nka kumpaana
Nange ssiri mulyazamanyi nkola n'amanyi okubaweereza enyimba
Wadde eriyo abatakkiriza nti ekisajja kino ki Herman kiyimbi nnyo
Mulikimanya nfudde nti abuze amuwonderako owange yali wamaanyi
Abagalwa ebigambo bino sibyogedde lwakuba mubyetaaga
Mbadde n'ekigendererwa ng'era omuntu bambi ananyumya ebitalumire
Kakati nno y'essawa, banange amatu muganjazike
Mulinyumya ki ate nga musubuddwa bino mpozzi olinda bya Yesu
Nze Basu... omugave owedda, tuula nno nkuseetulire

Ebintu webituuse wano, bwoba n'obwongo nga tebwakusiiwuuka
Ennamusa eri ku nyooge abalibeerawo abalamu jebujjako mulinjulira
Anankuba jayo omugo siluma mu byendeese wakiri okubimbuuza
Nga bw'eteri atukaabirako tukulukuse agaffe oba Mukama anawulira
Sooka wevume ekintu ekyakutonza munsi muno n'oyitibwa mu Africa
Ate n'akuwa ensi Africa ekulukuta omubissi wakati ne mu nsonda
Bwekyamala okubeera kityo abeeru ne bateeka llo era nebatuzinda wano
Nebakolerera ojinyaga mu buli ngeri esoboka tompakanya munange
Basooka kukalubirirwamu kati webatuuse abeeru batumezze dda
Kale bamezze n'okuluma nyabula nebassako tompakanya munange
Teri kinnuma nga kino kutusookera mbwongo buno nebatugwagwawaza
Lindako nno munange onokakasa bwennondodde omuzungu nensussa

Naye nina enyiike, ate ssi nze omu, naawe oli otyo lwabutakirondoola
Mukikkirize walumbe atutambadde, ku mulundi guno owokufikkawo y'ani?

Business y'eddini yali kalifomu wano eyakubwa mu baddugavu
Buli omu namunuusako obwongo nebusanyalala anti olwo tuleka ebyaffe
Gwekirumye olowooza nyo, sooka kufumitiriza n'otasooka kuŋoola
Twali tuleka mazima ng'ate tulina obwongo obwamuse tuli sharp
Omuntu okukuwera ejjinja nti eryo bwolisinzako Mukama akunyigidde
N'akuteerawo omusalaba nti bwogulengerako vunnama awo munange
Ate naawe n'okkiriza kakati eno ye ssaawa obwongo tubutaggulule
Omuzungu yajja n'enkola ye ng'omukyaayi bwabeera ey'okutubba n'ottutta
Obwongo bwebabumala ekyakabi kyebazzako wano nebatukyawaganya
Ssi nsonga nyammwe ali omu olw'enzikiriza ezenjawulo akukwatira ekissi
Baabo nekubyobufuzi nebatutegeeza wano ebyawano nti bambi bibi
Nti bbo bazze n'ebyabwe kwetuba tutambulira era nakyo netukkiriza
Nti omuntu bwakusooza nga tolina gguminkiriza muddize oluyi agende
Naawe gwebasanyudde noonya engeri y'ekiggo omuddemu takumanyiira
Bwemulaba kisussewo ffe eno jetuli mutuyite nga tubataase nga
Ffe nno tuli bannamwe lwakuba temunkula ny kutwenkana ng'eno
Kko ffe wewo awo, gwe tonsoozako, nja bbayita bakunyangalaze
Okufundikira, nga gundi mufu, nga yye omuzungu walaga awalengedde

Omuzungu bweyatuuka wano yatusanga n'enkumbi twalima nga wewuunye
Yatusanga n'amaato nga tubajja n'okujja kuno yasaabaza nga ago
Twali twambala tewali gweyasanga bwerere twalina embugo zaffe
N'ebivuga twabirina mbudde mwetuwumulira ssi guitar ne zi band
Omutonzi twali twamumanya dda nga tumusinza nnyo n'amasabo twazimba
Wadde nga tegaali ga kalina n'amategula nebyowe yali atusanga omwo
Twalina empisa ennungi n'amateeka wadde nga tegali mu buwandiike
Omuzungu ekitaali wano kimu kya kuwandiika kyemanyi kyeyajja nakyo
Ebirala twabirina ekyaliyo by'okyalabako n'ebirala byazaawa
Nga batutegeezezza nti ebyaffe mutindo mubi bbo bazze n'ebyabwe
Kati netufundikira ng'okuweesa kwatulema n'okubajja twerabira
Ndudde n'okulaba ekkomagiro munyiige banange omuzungu yatujirira
Njakwongera okumwogerera ajje abuulirize ewange ankoone ku mutwe nsambe
Mulibuulira abaana nti yalangira omutemu omubbi n'atufako atyo

Naye nina enyiike, ate ssi nze omu, naawe oli otyo lwabutakirondoola
Mukikkirize walumbe atutambadde, ku mulundi guno owokufikkawo y'ani?

Mwakimanyako emabega nti batusuubulako netubeera baddu eri
Omu Africa mukkirize yabonabona nnyo nnyo ku lukalu lw'abeeru
Amayinja g'omuwendo gano n'amasanga munange ababbi bagayoola nga
Ng'ate bagatikka ffe ku mutwe afa y'asigala okugasomosa ewabwe
Mwebatuweeseza motoka n'ebirungi byetulaba wano netuwuniikirira
Teri nakabwasisi omuntu alabye n'omubbi kitalo nnyo banange
Yandikomye nno awo ng'omunyazi bwakunyaga n'aleka nga wekwaanya
Naye muwulire ate kino kikuleeta n'amaziga bwoba olengera nga nze
Omuddugavu wotuuse otekwa kuleka nsi yo abeeru batukoowa 
Era buli ngeri esoboka omweeru ajikola osaane ogwerewo ddala kiriza
Wadde ne sirimu ono ssi bulwadde kyereeta ekyo temukirimbagana
Muwendo gwebakendeeza ng'era anatta ekizige bwatera okusooba atyo
Ennaku ezo ne besooza nti mwategedde enzaala mujikendeeze
N'ebibiina nebassawo ebikubiriza abantu ennyo okwewala enzaalo
Kuno tulina ebibira n'osanga omuntu omu ng'asula mu acre ana (40 acres)
Ng'eri basula ku bannabwe mu bizimbe bya kalina sso nabo bakyazaala
Naye olwokuba obwongo baali babusookerako luli nebatugagga
Kyeboogera kyetukkiriza nti oyogedde munaffe kyosabye tetugaane
Our Man! Kyogamba kki, engege ezamwe ssi nnene nkivumbudde
Kati empuuta zensize mu Africa, ziri taafu n'enkejje muzerabire
Kati akagege mazima okukegomba, tekyali kityo ng'omuzungu tanajja

Bwoba okyatudde, olojja omuzunzu n'entalo zigenderere
Omuzungu yaziseesa anti bwetwongera okwetta ye asemberera egoolo (goal)
Omuzungu bwakuwa emundu, gwogenda okukuba ye amuwa mukaaga ddu
Olwa edda noddayo nti owaaye omusajja wa maanyi nyongerayo n'ezindi
Laba bwetwetirimbula fekka kyeyayagaliza embazzi kibuyaga amusuulidde
Yalagira dda n'abaana okumusibira emigugu ejokuleeta lwajja eno
Ffe awo wetutanalaba wabula ate ne ssinenya abeeru awo webasooka
Obwongo bwaffe bayimu dda e galani (gallon) y'amazzi kati tebukyakwaata
Kiki omuzungu kyatakoze nga kkotogera Africa ayita mukujegomba
Tubuyita buyambi kuba yatufuula basabiriza olwo tuleka ebyaffe
Linda kerimwegalika lwemulyanjula emikono nti wabitugamba nga
Nze sikyalina ssuubi, mukama alizza bibye, omuzungu takyasaaga
Tuliraba okufiirwa ensi eno jetutanyaga mukama yeyajitukwaasa
Nabo n'abawa eyabwe awo bandivunanye yye okubagabira olunnyo

Naye nina enyiike, ate ssi nze omu, naawe oli otyo lwabutakirondoola
Mukikkirize walumbe atutambadde, ku mulundi guno owokufikkawo y'ani?

Kati nno bannange twandyekuŋanyizza wano buli muddugavu
Nga bwetuli ku lumu kututta kutwaala nsi tukomye obutakkanya
Abasibe okulwanira eluzira liba bbula lyamagezi oyo gwekiyamba ani
Kati nno nange bwembalaba nga mwesasira amasasi ssiri ku mwana wa gundi
Njagala tukkanye nti omuzungu yajjira ddala takyaddayo atuule
Mpozzi wabeerewo ekikolebwa nga kiva wa Mukama ebyange mbikubidde ntyo

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Privacy Overview

This website uses cookies so that we can provide you with the best user experience possible. Cookie information is stored in your browser and performs functions such as recognising you when you return to our website and helping our team to understand which sections of the website you find most interesting and useful.