Simanyi By Ssebo Lule & Ebrahim Soul’O (Lyrics)

Hahahahahaaa! Ayeh! Ayeh! Ayeh! Ayeh!
I don't know a lot! Yeah! I don't know a lot! Yeah!
Amma Learn! Amma Learn! Amma Learn! Yeah!

Simanyi oba essimu jenkwaata, lulikya ng'ate yeketta
Simanyi birungi biri mu kwetta, wadde ensi eno esoomooza
Simanyi oba emmere bwenkeeta, ng'olwo njiwayo ate ebyookya
Simanyi oba bino byendoota, siribulira eyo mu kawompo
Simanyi oba engolo ku mmeeza, ziruma ekifo omuti ogwo mwe gwaava
Simanyi oba ensolo zeteesa, zikaabe zinyiize abazirunda
Simanyi nabungi bwa nyumba, ziri munsi eno newuunya
Simanyi tulo njuki twekomba, obudde okuziba ng'ezunga
Simanyi na buuma bwendidde mukawunga, ndiwona cancer!
Simanyi nabungi bwa pamba, omuva essaati oba ekkooti
Simanyi oba essaala empanvu, zikuba obutuli mu bbaati
Simanyi oba eyayiiya eddaala, yalaba ekyo kyeyali anoonya

I don't know it all, truth is I don't know a lot
All I know is amma learn if I keep an open mind. Yeah!
I don't know it all, truth is I don't know a lot
All I know is amma learn if I keep an open mind. Yeah!

Simanyi babaka byebankolera, ensimbi zebafuna nsoberwa
Simanyi oba ensi eno ekoma wa! Nti kati kisenge nga bbuggwe
Simanyi kusirisa ku mawugwe, nyonje ebikyafu byegakutte
Tubonereze tutya ba sseduvuttu, abo abasobya nga kumabujje
Simanyi oba bwoba n'emputtu, nti onywa emumbwa n'okyuuka
Obuwuka mu lunaku bufa bumeka, simanyi nakumanya ne bwombuuza
Simanyi oba okujiyita empuuta, yagezako ekalize ennyanja
Simanyi oba Uganda eyenkya, emanyi amabanja agajirinze
Simanyi oba waragi awunza, simanyi na bulumi bwa nvunza
Simanyi oba ddala bwensonda, nsobola okuzimbayo ki arcade
Simanyi oba omwookyi wa gonja, taseera ssanyu anguzeko nfa
Simanyi oba nsobola okukogga, ne nenkana eccupa ya soda

I don't know it all, truth is I don't know a lot
All I know is amma learn if I keep an open mind. Yeah!
I don't know it all, truth is I don't know a lot
All I know is amma learn if I keep an open mind. Yeah!

Simanyi oba nga ddala kiriba, emirembe okudda mu Sierra
Simanyi oba bwokubwa ennyo empi, emba ziguma nga koolasi
Kki kyomanyi gwe ku science, atema emiti olime ekkajjo
Simanyi muti gwakuwa Bajjo, ebigambo bye abikendeeze
Simanyi oba lumu ndisuna ente, n'egwa eri n'eruma amannyo
Simanyi oba okumansa sente, kiraga nti walonda nnonde
Simanyi kutuula awo n'ensirika, nga sigudde mu by'emabega
Simanyi banywanyi byebalowooza, mu kiseera nga teri ayogera
Omuntu bwaggamba nti onkolera! Kaba kakodyo okukuwa omulimu!
Simanyi oba obusomyo bukaaba, nga busikibwayo mu magumba
Simanyi oba omanyi ebyafaayo, ebituufu ebikwaata kunsi yo
Simanyi oba entuuyo mu kyenyi, ziraga omuliro gwa byenfumba

I don't know a lot! Yeah! Amma Learn! Amma Learn! Amma Learn! Yeah!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Privacy Overview

This website uses cookies so that we can provide you with the best user experience possible. Cookie information is stored in your browser and performs functions such as recognising you when you return to our website and helping our team to understand which sections of the website you find most interesting and useful.