Nsooka kwebaza maama eyanfako bwaati nesifa mu myaka jiri Omanyi nazalibwa myaaka ejarimu endwadde embi ku ludda lw'abaana Mu myaaka j'ataano mw'omunaana awo ensi eno lwenjitambaala Namusuna weyefugira ennyo emibiri j'abaana abaliwo munanjulira Ne Polio mbiseera ebyo ndwadde yali ya mweera bangi nebafungalala Nze kwebyo byombiriri teri kyantabaala kwali kufuba kwa maama Zino embale kkiriza nti bizibu byansi nga nvudde mu buto bwange Nga ndi musajja nno eyeyawulira nazifuna ninawo n'abaana Nsabira ne bannange bwetwazirunda nga bwessirabako nti ono Nandibamenye amannya wabula bangi nyo walumbe atusombye luno Kakati ate mwe abandabye obukulu mwebale nka kumpaana Nange ssiri mulyazamanyi nkola n'amanyi okubaweereza enyimba Wadde eriyo abatakkiriza nti ekisajja kino ki Herman kiyimbi nnyo Mulikimanya nfudde nti abuze amuwonderako owange yali wamaanyi Abagalwa ebigambo bino sibyogedde lwakuba mubyetaaga Mbadde n'ekigendererwa ng'era omuntu bambi ananyumya ebitalumire Kakati nno y'essawa, banange amatu muganjazike Mulinyumya ki ate nga musubuddwa bino mpozzi olinda bya Yesu Nze Basu... omugave owedda, tuula nno nkuseetulire Ebintu webituuse wano, bwoba n'obwongo nga tebwakusiiwuuka Ennamusa eri ku nyooge abalibeerawo abalamu jebujjako mulinjulira Anankuba jayo omugo siluma mu byendeese wakiri okubimbuuza Nga bw'eteri atukaabirako tukulukuse agaffe oba Mukama anawulira Sooka wevume ekintu ekyakutonza munsi muno n'oyitibwa mu Africa Ate n'akuwa ensi Africa ekulukuta omubissi wakati ne mu nsonda Bwekyamala okubeera kityo abeeru ne bateeka llo era nebatuzinda wano Nebakolerera ojinyaga mu buli ngeri esoboka tompakanya munange Basooka kukalubirirwamu kati webatuuse abeeru batumezze dda Kale bamezze n'okuluma nyabula nebassako tompakanya munange Teri kinnuma nga kino kutusookera mbwongo buno nebatugwagwawaza Lindako nno munange onokakasa bwennondodde omuzungu nensussa Naye nina enyiike, ate ssi nze omu, naawe oli otyo lwabutakirondoola Mukikkirize walumbe atutambadde, ku mulundi guno owokufikkawo y'ani? Business y'eddini yali kalifomu wano eyakubwa mu baddugavu Buli omu namunuusako obwongo nebusanyalala anti olwo tuleka ebyaffe Gwekirumye olowooza nyo, sooka kufumitiriza n'otasooka kuŋoola Twali tuleka mazima ng'ate tulina obwongo obwamuse tuli sharp Omuntu okukuwera ejjinja nti eryo bwolisinzako Mukama akunyigidde N'akuteerawo omusalaba nti bwogulengerako vunnama awo munange Ate naawe n'okkiriza kakati eno ye ssaawa obwongo tubutaggulule Omuzungu yajja n'enkola ye ng'omukyaayi bwabeera ey'okutubba n'ottutta Obwongo bwebabumala ekyakabi kyebazzako wano nebatukyawaganya Ssi nsonga nyammwe ali omu olw'enzikiriza ezenjawulo akukwatira ekissi Baabo nekubyobufuzi nebatutegeeza wano ebyawano nti bambi bibi Nti bbo bazze n'ebyabwe kwetuba tutambulira era nakyo netukkiriza Nti omuntu bwakusooza nga tolina gguminkiriza muddize oluyi agende Naawe gwebasanyudde noonya engeri y'ekiggo omuddemu takumanyiira Bwemulaba kisussewo ffe eno jetuli mutuyite nga tubataase nga Ffe nno tuli bannamwe lwakuba temunkula ny kutwenkana ng'eno Kko ffe wewo awo, gwe tonsoozako, nja bbayita bakunyangalaze Okufundikira, nga gundi mufu, nga yye omuzungu walaga awalengedde Omuzungu bweyatuuka wano yatusanga n'enkumbi twalima nga wewuunye Yatusanga n'amaato nga tubajja n'okujja kuno yasaabaza nga ago Twali twambala tewali gweyasanga bwerere twalina embugo zaffe N'ebivuga twabirina mbudde mwetuwumulira ssi guitar ne zi band Omutonzi twali twamumanya dda nga tumusinza nnyo n'amasabo twazimba Wadde nga tegaali ga kalina n'amategula nebyowe yali atusanga omwo Twalina empisa ennungi n'amateeka wadde nga tegali mu buwandiike Omuzungu ekitaali wano kimu kya kuwandiika kyemanyi kyeyajja nakyo Ebirala twabirina ekyaliyo by'okyalabako n'ebirala byazaawa Nga batutegeezezza nti ebyaffe mutindo mubi bbo bazze n'ebyabwe Kati netufundikira ng'okuweesa kwatulema n'okubajja twerabira Ndudde n'okulaba ekkomagiro munyiige banange omuzungu yatujirira Njakwongera okumwogerera ajje abuulirize ewange ankoone ku mutwe nsambe Mulibuulira abaana nti yalangira omutemu omubbi n'atufako atyo Naye nina enyiike, ate ssi nze omu, naawe oli otyo lwabutakirondoola Mukikkirize walumbe atutambadde, ku mulundi guno owokufikkawo y'ani? Mwakimanyako emabega nti batusuubulako netubeera baddu eri Omu Africa mukkirize yabonabona nnyo nnyo ku lukalu lw'abeeru Amayinja g'omuwendo gano n'amasanga munange ababbi bagayoola nga Ng'ate bagatikka ffe ku mutwe afa y'asigala okugasomosa ewabwe Mwebatuweeseza motoka n'ebirungi byetulaba wano netuwuniikirira Teri nakabwasisi omuntu alabye n'omubbi kitalo nnyo banange Yandikomye nno awo ng'omunyazi bwakunyaga n'aleka nga wekwaanya Naye muwulire ate kino kikuleeta n'amaziga bwoba olengera nga nze Omuddugavu wotuuse otekwa kuleka nsi yo abeeru batukoowa Era buli ngeri esoboka omweeru ajikola osaane ogwerewo ddala kiriza Wadde ne sirimu ono ssi bulwadde kyereeta ekyo temukirimbagana Muwendo gwebakendeeza ng'era anatta ekizige bwatera okusooba atyo Ennaku ezo ne besooza nti mwategedde enzaala mujikendeeze N'ebibiina nebassawo ebikubiriza abantu ennyo okwewala enzaalo Kuno tulina ebibira n'osanga omuntu omu ng'asula mu acre ana (40 acres) Ng'eri basula ku bannabwe mu bizimbe bya kalina sso nabo bakyazaala Naye olwokuba obwongo baali babusookerako luli nebatugagga Kyeboogera kyetukkiriza nti oyogedde munaffe kyosabye tetugaane Our Man! Kyogamba kki, engege ezamwe ssi nnene nkivumbudde Kati empuuta zensize mu Africa, ziri taafu n'enkejje muzerabire Kati akagege mazima okukegomba, tekyali kityo ng'omuzungu tanajja Bwoba okyatudde, olojja omuzunzu n'entalo zigenderere Omuzungu yaziseesa anti bwetwongera okwetta ye asemberera egoolo (goal) Omuzungu bwakuwa emundu, gwogenda okukuba ye amuwa mukaaga ddu Olwa edda noddayo nti owaaye omusajja wa maanyi nyongerayo n'ezindi Laba bwetwetirimbula fekka kyeyayagaliza embazzi kibuyaga amusuulidde Yalagira dda n'abaana okumusibira emigugu ejokuleeta lwajja eno Ffe awo wetutanalaba wabula ate ne ssinenya abeeru awo webasooka Obwongo bwaffe bayimu dda e galani (gallon) y'amazzi kati tebukyakwaata Kiki omuzungu kyatakoze nga kkotogera Africa ayita mukujegomba Tubuyita buyambi kuba yatufuula basabiriza olwo tuleka ebyaffe Linda kerimwegalika lwemulyanjula emikono nti wabitugamba nga Nze sikyalina ssuubi, mukama alizza bibye, omuzungu takyasaaga Tuliraba okufiirwa ensi eno jetutanyaga mukama yeyajitukwaasa Nabo n'abawa eyabwe awo bandivunanye yye okubagabira olunnyo Naye nina enyiike, ate ssi nze omu, naawe oli otyo lwabutakirondoola Mukikkirize walumbe atutambadde, ku mulundi guno owokufikkawo y'ani? Kati nno bannange twandyekuŋanyizza wano buli muddugavu Nga bwetuli ku lumu kututta kutwaala nsi tukomye obutakkanya Abasibe okulwanira eluzira liba bbula lyamagezi oyo gwekiyamba ani Kati nno nange bwembalaba nga mwesasira amasasi ssiri ku mwana wa gundi Njagala tukkanye nti omuzungu yajjira ddala takyaddayo atuule Mpozzi wabeerewo ekikolebwa nga kiva wa Mukama ebyange mbikubidde ntyo
Infotainment
