Hahahahahaaa! Ayeh! Ayeh! Ayeh! Ayeh! I don't know a lot! Yeah! I don't know a lot! Yeah! Amma Learn! Amma Learn! Amma Learn! Yeah! Simanyi oba essimu jenkwaata, lulikya ng'ate yeketta Simanyi birungi biri mu kwetta, wadde ensi eno esoomooza Simanyi oba emmere bwenkeeta, ng'olwo njiwayo ate ebyookya Simanyi oba bino byendoota, siribulira eyo mu kawompo Simanyi oba engolo ku mmeeza, ziruma ekifo omuti ogwo mwe gwaava Simanyi oba ensolo zeteesa, zikaabe zinyiize abazirunda Simanyi nabungi bwa nyumba, ziri munsi eno newuunya Simanyi tulo njuki twekomba, obudde okuziba ng'ezunga Simanyi na buuma bwendidde mukawunga, ndiwona cancer! Simanyi nabungi bwa pamba, omuva essaati oba ekkooti Simanyi oba essaala empanvu, zikuba obutuli mu bbaati Simanyi oba eyayiiya eddaala, yalaba ekyo kyeyali anoonya I don't know it all, truth is I don't know a lot All I know is amma learn if I keep an open mind. Yeah! I don't know it all, truth is I don't know a lot All I know is amma learn if I keep an open mind. Yeah! Simanyi babaka byebankolera, ensimbi zebafuna nsoberwa Simanyi oba ensi eno ekoma wa! Nti kati kisenge nga bbuggwe Simanyi kusirisa ku mawugwe, nyonje ebikyafu byegakutte Tubonereze tutya ba sseduvuttu, abo abasobya nga kumabujje Simanyi oba bwoba n'emputtu, nti onywa emumbwa n'okyuuka Obuwuka mu lunaku bufa bumeka, simanyi nakumanya ne bwombuuza Simanyi oba okujiyita empuuta, yagezako ekalize ennyanja Simanyi oba Uganda eyenkya, emanyi amabanja agajirinze Simanyi oba waragi awunza, simanyi na bulumi bwa nvunza Simanyi oba ddala bwensonda, nsobola okuzimbayo ki arcade Simanyi oba omwookyi wa gonja, taseera ssanyu anguzeko nfa Simanyi oba nsobola okukogga, ne nenkana eccupa ya soda I don't know it all, truth is I don't know a lot All I know is amma learn if I keep an open mind. Yeah! I don't know it all, truth is I don't know a lot All I know is amma learn if I keep an open mind. Yeah! Simanyi oba nga ddala kiriba, emirembe okudda mu Sierra Simanyi oba bwokubwa ennyo empi, emba ziguma nga koolasi Kki kyomanyi gwe ku science, atema emiti olime ekkajjo Simanyi muti gwakuwa Bajjo, ebigambo bye abikendeeze Simanyi oba lumu ndisuna ente, n'egwa eri n'eruma amannyo Simanyi oba okumansa sente, kiraga nti walonda nnonde Simanyi kutuula awo n'ensirika, nga sigudde mu by'emabega Simanyi banywanyi byebalowooza, mu kiseera nga teri ayogera Omuntu bwaggamba nti onkolera! Kaba kakodyo okukuwa omulimu! Simanyi oba obusomyo bukaaba, nga busikibwayo mu magumba Simanyi oba omanyi ebyafaayo, ebituufu ebikwaata kunsi yo Simanyi oba entuuyo mu kyenyi, ziraga omuliro gwa byenfumba I don't know a lot! Yeah! Amma Learn! Amma Learn! Amma Learn! Yeah!
Infotainment
