Ssenga By Princess Amiirah (Lyrics)

Twagenda ne ssenga mu lusuku
Yangamba antendese kati olwo nkuguse
Nti era nfune omusajja kati nkuze
Era wewansangira, wasanga bantendese
N'ogamba ojja kunkima...
Yanguwa nkuloopere
Eno empewo ekoze ettima
Ntandise okutintima
Bakutonda nga remote yange
Nze alimu obuzanyo bwo ate
Njagala ojje obulabe olwo nkyakyankye
Lwaki ojja nyo mu birooto byange
Nkulaba nyo ng'omweenya
Leeta nawe smile yange nkyakyankye

Naye nawe obulidde luddawa
Obulidde luddawa...
Omukwano gwegunyonyogera
Obulidde luddawa...
Ate wangwambye ojja kunkima
Obulidde luddawa...
Kati maga maga sikulengera
Obulidde luddawa...

Njagala ojje nawe nkuziniremu kwasa
Tweyanjule mbakulu tewali kwekwasa
Nkuzaalire abaana otandike ng'obuusa
Love yo yamulisa eno ekimuli ky'akaloosa
N'emmere enemye okulya eno obutungulu bumpunyira bubi
Yeggwe birungo byange ebisensule owoomera omuli
Mwe ababadde bageya, mulinde watuukira
Mumulabeko bwafaanana
Ate mwe abakaayana, bw'anajja n'atambula
N'ettaka alikankanya

Naye nawe obulidde luddawa
Obulidde luddawa...
Omukwano gwegunyonyogera
Obulidde luddawa...
Ate wangwambye ojja kunkima
Obulidde luddawa...
Kati maga maga sikulengera
Obulidde luddawa...

Era wewansangira, wasanga bantendese
N'ogamba ojja kunkima... Obulidde luddawa...
Yanguwa nkuloopere, eno empewo ekoze ettima
Ntandise okutintima... Obulidde luddawa...
Traffic ekusumbuye! Mbamanyi balina ettima
Kati bagambe olina alumwa... Obulidde luddawa...

Obulidde luddawa...


Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Privacy Overview

This website uses cookies so that we can provide you with the best user experience possible. Cookie information is stored in your browser and performs functions such as recognising you when you return to our website and helping our team to understand which sections of the website you find most interesting and useful.